Tuesday, 11 Aug 2020

Abayimbi abakyala bakubiriziddwa okwenyigira mu nteekateeka zemerimu gyabwe

Abayimbi abakyala bakubiriziddwa okufaayo ennyo okwenyigira mubuli kikwata ku mulimu gwabwe ogwokuyimba. Bino byayogweddwa omuyimbi Afrie bwe yabaddde mukafubo ne bakyala banne nga kubaganya ebirowoozo ku kifo ky’omukyala munsiike yebiyiiye ebisanyusa banansi mu ggwanga.

Mukunyonnyola kwe, Afrie yagambye nti “Omuyimbi ajudde yoyo afaayo era amanyi kubuli kimu bwekituuka kumulimu gwe. Gyokoma okumanya gyekoma okweyimirizaawo nomulimu gwo nga okozesa obukugu.”

Yayongedde n’akutira abakyala okukolagana nabantu abalina omulamwa era abo abalina ebigendererwa ebitegerekeka olwensonga nti ba maneja ne ba puromoota bensangi zino balina ebigendererwa ebitalaga bukugu yadde.

Catherine Nakawesa kakensa mumazina era nga mutendesi wago yakutudde abasanyusa okutegeera ensiike gyebalimu n’ebitundu mwebawangalira wamu nabantu bebawangaala nabo nga akakasa nti kino kyakubayamba obutasosolwanga wabula okuwagirwa olwebitone byabwe.

Ensonga ezo zagenze okwogerwaako nga kigambibwa nti abamu kubayimbi abakyala mu ggwanga baganza ba maneja babwe ekintu ekitalaga bukugu nomulundi nogumu.

195 Views

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *