Tuesday, 11 Aug 2020

Musasulwa bubi kyemuva mutunyigiriza- Eddy Kenzo ayambalidde banamawulire

Ebanga ttono eriyise, Sheila Gashumba yavaayo nayanika abaali bakama be aba NTV olwokuba nga yali tasasulwa bulungi.

Ensonga ya Sheila yaleeta akakubagano wakati wabanamawulire n’abantu abalala nga abamu bamuwagira nga ate abalala bagamba kyeyakola kyari tekyetagisa kubanga teyasoma kimala.

Mu abo abakiriziganya naye mwe muli omuyimbi Ediriisa Musuuza abangi gwebamanyi nga Eddy Kenzo.

Anga ayita kugimu ku mikutu ggye egya mugatta bantu, Kenzo avuddeyo nalangira banamawulire olwokubanga really okukozesa eddoboozi nensonga ya Sheila Gashumba okusobola okwongezebwa okusaala.

“Mukifo kyokuteeka ba boss bamwe kuninga babawe emisaala ejijja muntuuyo zammwe kubanga mikola nnyo. Awo temwalabye nti waliwo omulamwa ogubayamba…?byebimu kubigambo bye.

Kenzo yayongedde nategeeza nti obutasasulwa bulungi kiretedde abayimbi obuzibu nga abanamawulire abamu babasabiririza nekumpewo.

“Banamawulire abamu bakiriza nti bwotampa sente nkuvuma…” Kenzo bweyategeezezza.

119 Views

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *