Bya Boniface Kizza
Ekitongole ekivvunanyizibwa ku kulondoola omutindo gw’eddagala ly’ebirime mu minisitule y’obuvubi n’obulunzi muggwanga nga kiriwamu ne polisi e Masaka bakoze ekikwekweto kubasubuuzi n’abatunzi b’ebikozesebwa mukulima mukibuga Masaka mw’eyoledde abasubuuzi 15 bano nga babadde batunda ebintu ebyaggwako nga ate ebirala tebiri kumutindo.

Ekikwekweto kino kikoleddwa ku Buddu street mukibuga Masaka wamu nemukabuga komu Nnyendo eranga wabaddewo akajjagalalo wakati mukwata abasubuzi bano ngabamu kubbo basoose kwezooba na polisi nga tebagala kutwalibwa.
Akuliddemu ekikwekweto kino Agaba Adrine nga ono mulamuzi mukitongole kino era nga yavunanyizibwa kukulondoola omutindo gw’ebirime agambye nti bazudde ebintu bingi ebikozesebwa mukulima by’ebasanze n’abakwate nga ebigimusa, ensigo yebijanjalo ngeno esangiddwa nga yaggwako mu mwaka gwa 2018 kyokka nga bakyagiguza bannayuganda ate ku bbeeyi eyawaggulu.
Wabula abamu kubasubuuzi olulabye ng’embeera egaggaye baggadde amaduuka g’aabwe nebadduka.
Bo abatuuze bavumiridde nnyo ekikolwa ky’okudduka nti bano b’ebagenda okusigala nga babitunda olwo bbo bagende maso n’okufirizibwa.
Agaba Edrine ayongeddeko ngabakwate bw’ebagenda okusimbibwa mumbuga z’amateeka bavunanibwe er’anga bw’egunabasinga bakkolebwako ng’amateeka bw’egalagirwa.
Byo ebiboyeddwa bitikiddwa kubimotoka n’ebitwalibwa ku poliisi.
