Bya Boniface Kizza
Kooti ya LC 3 ku ggombolola ya Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi erayiziddwa mubutongole okutandika emirimo gyayo. Kooti yakutuula kuggombolola eranga yakukola kumisaango emitonotono egy’etagisa okumalira ku kitundu kiyambeko okkendeeza omujjuzo mu kooti enkulu.

Bwabadde alayiza olukiiko lwa kooti, omulamuzi Aisha Nattembo abakalatidde okuba aberuufu mu misango gy’ebalamula kino kisobole okumalawo enkayana ku kitundu. Ono ayongeddeko nagamba nti singa bano tebasala bulungi misango kiretera abatuuze okubeeranga berumaluma ate oluusi n’okuletawo obutali butebenkevu kukitundu nga kwotadde nokukola ebikolwa eb’yokutwalira amateeka mungalo.
Omulamuzi ategeezezza nga kooti eno bwetalina buyinza kwetaba nakusala misango egikwata oba egyefananyirizaako ejjebyettaka nti kuba ensonga y’ettaka nnene kale nga erina kulekebwa kooti enkulu zokka. Mungeri y’emu abalabudde era n’abakalatira okukuuma obulungi ebiwandiiko by’emisango gy’ebaba basaze kino kyanguyize abalamuzi okugoberera obulungi emisango egyo naddala bw’ekiba nga bannannyini gyo basazeewo okujjulira.
Ayongeddeko n’alabula kunsimbi ezakazibwako ez’embaata zi mpa akamyu nkuwe ente nti bazitunnulire n’eliiso egyogi olwokubaako ebinnubule bingi ebiviraako abantu okufiirwa eby’obuggagga byabwe olwokubulwa ennambika ennungi.
Abalayiziddwa okutuula ku kooti eno bakulembeddwamu Ntambaazi Christopher anyonyodde nti kooti eno emaze akaseera nga teriiwo mu Bukomansimbi naye kyamukisa nti etandikidde mukisanja kyabwe kale nga bakukola obutebalira okulaba nga batwala ekitundu kyabwe mu maso n’addala mubyamateeka wamu n’amazima n’obwenkanya.
Sentebe weggombolola ya Kibinge Deo Bwanika agambye kino ekikoleddwa kyakuzukiza ba sentebe engeri y’okusalamu emisango n’ennambika egobererwa kimalewo obunkenke mubatuuze n’okufuna gy’ebaddukira nga bafunye obutakaanya.