Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssentebe w’ekibiina ekitaba abajjanjabi abakozesa eddagala ly’obutonde ki Uganda Herbalists Association nga kino kikolera wansi w’ekitongole ekirondoola omutindo gw’eddagala mu Ggwanga ekya National Drug Authority-NDA, alabudde abasawo b’ekinnansi okukola omulimo gwaabwe nga bakulembeza Omutindo, oba ssi ekyo Amateeka gakubakwaata.

Jamir Mukwaya akulira Uganda Herbalists Association, asinzidde Masaka mukusomesa abasawo b’ekkinnansi n’abakozesa Eddagala ly’obutonde ku Tteeka eribalungamya mukukola Omulimu gwaabwe, n’ategeeza nga Bano Bwebalina okubeera ne License, nga bawandiisizza emirimu gyaabwe, okuteekateeka ebifo obulungi webakolera n’okukola ebintu ebyo byokka ebigoberera Amateeka, omuli n’okusabika (okupakiinga) eddagala lyaabwe lyebawa abantu, nga balambise n’enkozesa yaabyo.
Omubaka wa Gavumenti mu Kibuga Masaka Steven Asiimwe wamu n’aduumira Poliisi e Masaka Moses Nanock bebakulembeddemu ab’ebyokwerinda okwetaba mu Musomo guno, Asiimwe n’akubiriza abajjanjabi okubeera abayonjo n’okulongoosa obulungi ebifo byebajjanjabiramu abantu, nti kubanga abamu bajja okunona eddagala eribavumula ate nebadda n’ebirwadde ebirala, oluusi ebiva ku Bukyafu. Bano balabudde n’ekubikolwa eby’ettemu n’okubuzaawo abaana, abasawo b’ekinnansi abamu byebenyigiramu nga basaddaaka, nti bino bivumaganyisa omulimu gwabano era ababikwatirwaamu bajja kugenda mu Maaso n’okuvunaanibwa ng’amateeka bwegalagira.
Ssalongo Kayinga nga y’akulira okulondoola emirimu gy’abasawo b’ekinnansi mu bitundu bya Masaka, akulembeddemu banne okusoma ku Tteeka n’enkola ennungamu ey’emirimu gyaabwe n’ategeeza nga bwebagenda okukola omulimu ogwamaanyi okufuuza abasawo abafere ababerimbikamu okwonoona omulimu gwaabwe nga bakola ebikyaamu, n’asaba ab’ebyokwerinda okubayamba n’okukolera awamu nabo, naddala nga bannyikiza ebikwekweeto. Ono era asabye n’abantu omuli n’abakulu mu Gavumenti obutabayisaamu Maaso n’obutabalekerera mu Nsonga ez’enjawulo nti kubanga bakola ky’aamanyi okutaasa obulamu bw’abantu era nga bebasookerwako.
