Bya Boniface Kizza
Minisita wabavubuka, ebyemizannyo n’okwewumuzaamu mubwa Kabaka bwa Buganda owekitiibwa Henry Ssekabembe Kiberu asabye abavubuka mu Buganda okuba abegendereza nga betaba mubyobufuzi byagambye nti bangi babiyingiramu nakinyumu gyebigwera nga banansi bangi tebaganyuddwamu.

Bino bibadde mububaka bw’atisse minisita wamawulire, olukiiko, kabinenti abagennyi era omwogezi wobwakabaka owekitiibwa Nohar Kiyimba kumukolo gw’okutongoza Nkobazambogo mumatendekero agenjawulo wamu nokukyusa obukulembeze bwa Nkobazambogo mussaza Buddu ngomukolo gubadde ku St Stephens High School Kyotera.
Minisita era abasabye okwetegereza ennambika yabavubuka wamu n’ebbago eriza obugya ekibiina kya nkobazambogo okulyetegereza nkaliriza kibasobozese okulambika obulungi bebakulenbera.
Ye minisita Nohar Kiyimba kululwe abakubirizza okuba abegendereza nokumala okunonyereza kwebyo byebaba bagenda okwogera wamu n’okuba ekyokulabirako eri bebakulembera.
Ono ayongeddeko nabakalatira okukuuma obutonde bwensi ne yenyamira olwabo ababutyoboola ngabanonya obuggagga.
Brother Ssennyondo Flujensio nga ono abaddewo kulwomusumba Serverus Jjumba akutidde bannankobazambogo okuyambagana bwebabanga bakuwereza bulungi wamu nobutatya mayengo gebagenda kusanga mubukulembeze.
Abamu kubakulembeze bekitundu nga bakulembeddwamu sentebe wa Kyotera District Patrick Kintu Kissekulo balaze okutya olwabantu abayivu abekola obusolosolo nebavaayo okutyobola obwakabaka nga bekwasa obusongasonga.
Director wessomero lya St. Stephens high school Ntula Yiga Stephene atubulidde ebirungi byebatuuseko ngesomero lino nga bayita mu Nkobazambogo omuli empisa, saako nokutandikawo pulojekitisi ezivaamu ensimbi.
Alondeddwa nga sentebe wa Nkobazambogo mussaza Buddu, Luswata Vicent asubiizza okubbulula nkobazambogo okugituusa kuddala wetabadde mukaseera naddala nga basosowaza ebyo byennyini ebikwata kumuvubuka womulembeguno Omutebi.
