Bya Boniface Kizza
Bannakibiina kya NRM bavuddeyo nebawera nga bwebatagenda kuddamu kukiriza lyebayise ejjoogo eribakolebwako aboludda oluvuganya gavumenti bano nga batunka nokugobwa kumikolo egitali gimu nga mwotwalidde nokuziika kyebagamba nti sibakukikiriza.

Kinajjukirwa nti munna NRM Catherine Kusasira nemunne Bigeye gyebuvuddeko abavubuka ba Nup babanabira amaaso nebabafubutula mukuziika Taata wamuyimbi munnabwe Mathius Walukagga.
Bwebabadde basisinkanye ku Solo Hites Hotel mukibuga Masaka, bassabakunzi ba NRM mu disitulikitisi ezikola ebbendobbendo lye Masaka ngensisinkano eno egendereddwamu okumanyagana nga bannakibiina wamu nokusa entotto okukomyawo emitima gyabannakibiina oluvvanyuma lwokuyisibwa obubi mukalulu akakubwa omwaka oguwedde. Bano batuuse nokugunjaawo akabinja akekiseera nga kakulemberwa Kafeero Ismail Matovu nga kekawewereddwa obuvvunanyizibwa buno.
Brigadia Deus Ssande omuddumizi wamagye okuva mubalakisi ye Kasijjagirwa abasabye obutalegezza nti kuba tebamanyi buvvo bwakibina ki Nrm. Ono era abasubiizza okubawa bulikimu kyebanetaaga nga mwemuli namagye bwe kiba nga kyekinanywereza NRM mubuyinza.
Ye amyuka omubaka wa pulezidenti mukibuga Masaka Al-Hajji Ahmmad Kateregga Musazi ategezezza ngobudde bwa NRM okuva mubuyinza bwebutanaba kutuuka olwebintu ebingi gavumenti ya NRM byekyalina okutukiriza gamba nga okuggya abantu mubwavu, okutebenkeza emirembe muggwanga naddala nga balwanyisa abayekera ba ADF, okutumbula ebyobulamu nebyenjigiriza n’abakutira okwetanira enteekateeka za gavumenti ezokugya abantu mubwavu obuli emyoga Parish development model n’endala.