Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abamu kubatembeeyi abaagobwa RCC wa Kampala Huud Hussein ne Hajjat Minsa Kabanda wamu n’omubeezi Kabuyekyofatogabye, balabiddwaako ng’embeera bagyitetenkanyiza mu Kibuga Masaka mu Buddu.

RCC wa Kampala wamu neba Minisita bombiriri, baategeeza nti eky’okugoba abatembeeyi ku nguudo z’ekibuga nteekateeka ya Gavumenti ey’okukirongoosa n’okuteekawo obutebenkevu wamu n’okujjawo akavuyo n’akalippagano mukyebaayita SMART CITY.
Tulina omukyaala gwetugwiikirizza ku nguudo n’ebimu ku bizimbe byomu Masaka ng’atambuza ebintu eby’anjawulo okuli Amasaawa, obukuufu, obw’omumatu n’ebyokwewunda ebirala, n’ategeeza nga bwebabagobaganya mu Kampala nebabasuuza ebintu byaabwe ebisinga obungi n’okubafiiriza Ensimbi z’ebifo webaali bakolera ne License zebaali baasasula edda!!
Ono akkukkulumidde nnyo abakulembeze baabwe okuli Mmeeya Ssalongo Erias Lukwago gw’agambye nti tabalwaniridde kimala, era n’ayogera n’ebikaawu eri pulezidenti Museveni okwezza eggwanga n’okulifugisa omukono ogw’ekyuma ogwabwannakyeemalira.
Cue-in-OMUKYAALA NG’ATEMBEEYA EBINTU E MASAKAw
