Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abatuuze mu bitundu bya district y’e Ssembabule, mu Magombolola okuli Kyeera, Mijwala, Lwemiyaga, ne Mateete abaakubwa Kibuyaga gyebuvuddeko n’aleka ng’ayonoonye ebimera byaabwe, badduukiriddwa n’obuwunga, basobole okufuna eky’okulya.

Ettu lino Lyeetikiddwa Omubaka wa Mawogola North Shartis Kuteesa Musherure, alituusizza mu Office ya RDC Pr.Colleb Tukayikiriza. Kiro z’obuwunga eziwerera ddala emitwalo ebiri mu enkumi satu n’okusoba, ssaako kiro z’ebijanjaalo ezisoba mu mitwalo ebiri mu enkumi nnya byebiweereddwaayo Gavumenti ng’eyita mu Office ya Ssaabaminisita ne Minisitule ey’ebigwa tebiraze.
Mukuwaayo ebintu bino, Omubaka Musherure asabye abakulembeze abalonde kwossa Abaami b’emiruka (Parish Chiefs) okuteekateeka abantu okuganyulwa mu Nteekateeka ya Gavumenti ey’okulakulanya abantu, eya Parish Development Model.
Ssentebe wa Ssembabule Patrick Nkalubo, asabye ebintu ebireeteddwa bigabanyizibwe mubwenkanya nga tebasosodde bantu mu bitundu byaabwe nandowooza yabyabufuzi.
Omubaka wa Gavumenti atuula e Ssembabule Pr.Kaleb Tukayikiriza aweze okulondoola abakulembeze abalonde ssaako abakozi ba Gavumenti okulaba nga batuusa obuweereza obusaanidde ku bantu, n’okulwanyisa enguzi.
