Bya Boniface Kizza
Ekibuga Masaka kyekimu kubibuga ebisembyeyo okusumusiibwa okutuuka kumutendera gwa city wabula nga kino kyongedde okuletawo enkyukakyuka ezitali zimu nga mwemuli n’abaana ebeyongedde okweyiwa kunguudo olwensonga ezitali zimu. Abamu kubaana betugwikirizza batutegeezezza ngebiseera ebisinga obungi webawalirizibwa okudduka ewaka n’ebasalawo okudda kunguudo olw’ebikolobero ebibakolebwako bazadde babwe.

Abamu kubbo batutegezezza nga bw’ebammibwa eky’okulya, okuwebwa ebib’onerezo ebikakali nga kwotadde n’abazadde obalekanga ewaka n’ebasula mubbaala.
Abandi batutegezeezza nga bw’ebasindikibwayo obuterevu okuva mubazadde babwe n’ekigendererwa ky’okunoonya ensimbi ng’ate bakyali bato ekibavirako okwenyigira mumize ejivirako bangi okufuna embuto z’ebatetegekedde n’emize emirala ng’okunywa enjaga.
Brendah Haddar Haddu ngono wakitongole ekirabirira abaana b’okunguudo mu kibuga Masaka ekya ‘Child isolation outreach uganda” agamba okuva mu mwezi gwa Gatonnya abaana bangi bawanduse mumasomero, wabula nga bakafuna abaana 150 bebakalonda okuva kunguudo ng’ekinaana 80 basobodde okukitwala mu masomero g’ebyemikono ng’abasigadde bakyabuliddwa amagezi.
Ayongeddeko nasaba abaz
adde okufaayo ennyo eri abaana babwe nti buli mwana aba wamugaso muggwanga kale nga tekyandibadde kirungi bamale gabasuula.
Avunannyizibwa kunsonga zekikula kyabantu mu kibuga Masaka ng’era yakikirira abavvubuka kunsonga zekibuga Nansubuga Rossetti agambye nti abazadde bayitirizza omuzze g’okutulugunya abaana kale nga kino kiwalirizza abaana okudduka ewaka. Atubulidde nga bwebalina enteekateeka y’okuddayo mubyalo basomese abazadde kungeri y’okulaba nga bamalawo obutabanguko mu maka.
