Bya Boniface Kizza
Kkooti e Masaka eraze olunaku lwa nga 29 Omwezi guno, nga Lweddamu Okuwulira okunoonyereza Wekutuuse ku Misango Egyivunaanibwa Omubaka wa Kawempe Muhammed Sseggirinya nowa Makindye West Allan Ssewannyana, kubyekuusa ku Ttemu ly’ebijambiya eryafiiramu abantu abawera mu Bitundu by’e Masaka.

Okusooka wabaddewo okukandaalirirwa mu Kkooti, ngebyuma biremereddwa Okuyunga abasibe ku Mutimbagano gwa ZOOM Okusinziira mu Kkomera e Kigo n’e Kitalya gyebasinzidde okulabikako mu Kkooti e Masaka.
Oluvannyuma lw’essaawa eziwera ebyuma Biteereddwaako, Omuwaabi wa Gavumenti Richard Barivumbuka n’aleeta emisango emiggya Egyisomeddwa Ababaka nebannaabwe Abalala Okuli Mutabaazi Batesta, Kabayo Henry, Sserwadda Mike, Muwonge Jude, Mugera John, Wamala Bulo n’abalala abaguddwaako emisango gyobutujju, Okulya mu Nsi Yaabwe Olukwe, Obutemu, okuvujjirira Obutujju nokugezaako okutta Abantu mu Bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’ebbendobendo ly’e Masaka, wakati wa January ne August w’omwaka Guno, era n’ategeeza nti gyikyanonyerezebwako.
Omubaka Allan Ssewannyana Ategeezezza ng’embeera y’obulamu bwe bwetali nnungi Mu Kkomera gyaali, n’asaba ab’oluganda lwe Okuleeta Eddagala lye, Omulamuzi Grace Mukooli Ky’akkirizza.

Abawawaabirwa Bonna Emisango egyibavunaanibwa Bagyegaanye, era Munnamateeka waabwe Nga Ye Mubaka wa Kampala Shamim Malende n’ategeeza Ng’ensi Bweyagala Okumanya Abatemu Abatuufu, n’olwekyo Gavumenti eyanguyeeko Okunoonyereza Kwaayo Omusango guno Guggwe, n’ababaka Bagende baweereze Abantu baabwe kubanga kati bakabula mu Ntuula Za Palamenti.