Bya Boniface Kizza
Abadde omubaka wa pulezidenti mukibuga Masaka Stephene Asiimwe mubutongole akwasiza amuddide mubigere yaffesi ngono ye Katende Ronald Kinene.

Bwabadde amukwasa yaffesi amukalatidde okologana obulungi nabakulembeze mukibuga Masaka newankubadde ngabasinga obungi bagwa kuludda oluvuganya gavumenti kino kimwanguyize obuwereza obumuwereddwa .
Ono ayongeddeko okumukalatira okutumbula nokulondoola pulogulamu za gavumenti omuli emyoga,parish development model nendala kiyambeko okusitula embeera zabantu mukibuga Masaka.
Katende Kinene agambye nti abadde awulira amalobozi mubantu ngomuntu atasobola kyagambye pulezidenti okumulonda namwesiga sinsobi nti era ebbanga lyamaze mugavumenti limumala okumusobozesa okubaako kyakolera abantu.
Ono yeyamye okwongera okutumbula ennyingiza zabantu ngatandikira ku parish development model,okulwanyisa enguzi gyagambye nti ejjudde buli wamu.Asiimye omutanda olweddobozi lyeyagattako okulaba nga Masaka efuuka ekibuga.