Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omusumba w’ekkanisa y’abalokole eya Apostles Revival Church e Kibaale Kooki mu District y’e Rakai Joseph Tumwebaze, adduukiridde amaka agasoba mu 500 n’emmere wamu n’ebintu ebikozesebwa mu Bulamu obwabulijjo.

Bano okusinga nga Bakadde, Bannamwandu Ssaako abaliko obulemu, baweereddwa ebintu omuli Ssabbuuni, Sukaali, Omunnyo, Amabaafu, obusawo bw’obuwunga n’ebirala okubayambako okutambuza obulamu.
Abatuuze nga bakulembeddwaamu abakiise baabwe okuli Kkansala Wilson Mwesigwa akyiikirira Towncouncil y’e Kibaale ku district ne Kkansala Jesca Nalubwama bagambye nti babadde bamaze ebbanga ng’ekyokulya bawamma kiwamme, olw’ekyeya n’omusana Ppereketya ogwabazinda neguleka nga gusaanyizzaawo ensuku n’ebirime ebirala, nebasigala nga tebalina kyakulya nga n’ensimbi zebekubya mpi, kyebavudde basiima eky’okubadduukirira.
Omusumba Joseph Tumwebaze agambye nti Olw’ekisa kya Katonda ekimusobozesezza okufuna Ensimbi okuva nemu Mikwano gye e Bweru, yasazeewo okudduukirira abateesobola naddala abakadde neba Nnamwandu, ng’alina n’enteekateeka ey’okubazimbira Amayumba, batambulire mu Bulamu obuwa Essuubi n’okweyagala.
Abayambiddwa bajaganyizza n’okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda, olw’okubakuba Enkata y’ebintu eby’okubatambuzaako akabanga mu Maka gaabwe.