Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abakulembeze b’abaliko obulemu mu Ssaza lya Kabaka Kooki mu district y’e Rakai, basomeseddwa ku bukulu bw’okukuuma obulamu bwaabwe era nebabakana n’eddimu ery’okukunga bannaabwe okwegekebeza n’okulwanyisa endwadde enkambwe okuli Mukeneya n’akafuba (TB).

Bano nga bavudde mu Magombolola ag’enjawulo agakola Essaza Kooki okuli Ssabawaali Byakabanda, Ssabagabo Buyamba, Ssaabaddu Lwamaggwa, Mutuba Esatu Kakyeera, Mutuba Ebiri Kifamba, Mutuba gumu Kyalulangira, Musaale Kibanda n’endala, babadde ku Ggombolola ya Mumyuka Lwanda nebasomesebwa ekitongole kya Rakai Association of People with Disabilities living with HIV (RADIPHA) nga Kino kikolera wamu n’ekya Masaka Association of People with disabilities Living with HIV (MADIPHA) nebategeeza ng’abantu abaliko obulemu bwebasoomozebwa ennyo endwadde zino olw’okubudabudibwa oluusi okutali kulungi, nga nabwekityo kyamugaso nnyo okubasomesa n’okubakunga okubwewala ate n’ababulina okumanya eky’okukola okutambulira mu bulamu obulungi nabwo.
Omwami wa Kabaka akwaanaganya enzirukanya y’emirimu mu Ssaza Kooki ow’ekitiibwa Getrude Nakalanzi Ssebuggwaawo, yeetabye mu Musomo gw’abaliko obulemu mu Ssaza lino n’akinogaanya nga Ssaabasajja Kabaka bwayagala abantu be Bonna nga Balamu bulungi, n’olwekyo n’abaliko obulemu tebasaanidde kusuulirira.
Amalwaaliro agajjanjaba ekirwadde kya TB mu Ssaza Kooki okwetoloola district y’e Rakai, kuliko Eddwaaliro ekkulu erya Rakai Hospital, Lwanda Healthy Centre ey’okusatu, Kifamba Healthy Centre III, n’endala okwetoloola Amagombolola gonna.
