Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abakulembeze b’abavubuka mu Buganda, babakanye nekaweefube w’okutalaaga amasaza ga Buganda gonna ekkumi n’omunaana, nga bakunga bavubuka bannaabwe bebakulembera okunnyikiza empisa ez’obuntubulamu, n’okubajjukiza ennono yaabwe gyebalina okutambulirako okuzimba Buganda eggumidde.

Adrian Ibrahim Lubyayi nga ye Ssentebe w’ebibiina bya Nkobazambogo mu Buganda, asinzidde ku Ssomero lya St.Paul Sec School Kyanukuzi mu Ggombolola y’e Kisekka Lwengo mu Ssaza Buddu, gy’atongolezza enkola y’ebibiina bya Nkobazambogo-Akaliba akendo mu Masomero ga Secondary, n’akinogaanya ng’eggwanga bweriweddemu abantu abalimu obuntubulamu, nga n’abakulembeze abasinga obungi baakiboggwe, nga nabwekityo Kisaanidde okuzimba abo abanaawa essuubi okuzimba Buganda eggumidde, okutandikira mu Bavubuka.
Ono ategeezezza nga Kaweefube bwatandikiddwa, okutuuka ku Bavubuka bonna basomesebwe ku Nneyisa ennungamu ey’abaganda, basobole okuvaamu eby’omugaso n’abaweereza abanatwala Buganda mu Maaso.
Vicent Luswata nga ye Ssentebe wa Nkobazambogo mu Ssaza Buddu, naye akkaatirizza nga Buganda bweyazimbirwa ku Nnono n’obuwangwa ssaako empisa zaayo Ennungi, zebalina okugenda mu Maaso nga Bazisomesa emiti emito, Buganda esobole okugenda mu Maaso naddala ku Mulembe guno omutebi ogwakwaasibwa Abavubuka.
Omuyima w’ekibiina ky’abayizi ekya Nkobazambogo ku Ssomero lino Jimmy Ssengonzi, ategeezezza ng’omuggalo ogwaleetebwa Lumiimamawuggwe bwegwaali guzizza Ebibiina by’abayizi emabega, naye kati baakugenda mu Maaso.
Omugave Micheal Ssemwogerere, y’alondeddwa kubwa Ssentebe bwa Nkobazambogo Akalibaakendo, ku Ssomero lya St.Paul Sec School Kyanukuzi, e Kisekka Lwengo bu Buddu.
