Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abakulembeze nebannabyabufuzi ku mitendera egy’enjawulo mu district y’e Ssembabule Ssaza lya Kabaka Mawogola, beeyamye okutambulira awamu n’abaweereza b’obwakabaka mu ssaza lino, okugonjoola ensonga z’ettaka lya Kabaka eryafuuka Namulanda.

Bano Basinzidde mu Lukiiko lwa Ggombolola y’e Mijwala (Mijwala Subcounty LC-3), olukubiriziddwa ssentebe Deo Byaruhanga, nga Lwetabiddwaamu abakulembeze okuli RDC Pr.Kaleb Tukayikiriza, Ssentebe wa Ssembabule Patrick Nkalubo, Omubaka wa Mawogola North Shartis Kuteesa Musherure, Amyuka akulira Abakozi Ronald Ahimbisibwe n’abalala, wamu n’abaweereza b’obwakabaka nga bakulembeddwaamu omwami wa Kabaka ow’e Ssaza Muteesa Muhammed Sserwadda, n’owa Ggombolola Ssabawaali Mijwala Ssaabwe John Ssempala. Ba Kkansala ba Mijwala ne Ssentebe Byaruhanga, basabye abakulembeze bano ensonga z’ettaka lya Ssaabasajja Kabaka zigonjoolwe, emitendera emituufu gyigobererwe, Ssembabule egende mu Maaso.
Mukwaanukula, Omubaka wa Mawogola North Shartis Musherure akawanggamudde bw’ategeezezza ng’ensonga zino bw’abadde Tazimanyiiko, nti kyokka kati azitegedde bulungi wakutandika okuzigoberera era n’okunoonya engeri y’okuzitereeza. Ssentebe wa Ssembabule Patrick Nkalubo agambye nti Kyabuswavu eri district y’e Ssembabule, okwesimba mu Nnyininsi Kabaka wa Buganda okuwoza naye mu Mbuga z’amateeka ate ng’abantu okuli n’abo abassibwaamu ekitiibwa e Ssembabule era abakulembeze, nga bebawanggamye ku Ttakalye. Omubaka wa Gavumenti atuula mu kitundu kino Pastor Kaleb Tukayikiriza, agambye nti ye Munnaddiini, Paasita omulamba akkiririza mu mirembe, era ng’akimanyi nti ensonga zonna zigonjoolwa nakukkaanya, n’asuubiza okubaako ky’akolawo okuzza embeera mu nteeko e Ssembabule, nga tewali kusika muguwa kubya Ttaka.
Obwakabaka bwa Buganda bwawalawala eyali Ssentebe Elly Muhumuza, Minisita Hanifa Kawooya, omugagga Benon Burola, Samuel Mushabe, Akakiiko ka District akakola ku nsonga z’ettaka wamu n’abantu abalala nebabatwala mu Kkooti, olw’okwesenza, okuwamba, okwekomya n’okulemera ku Ttaka lya Kabaka ery’embuga ya Ggombolola Ssabawaali Mijwala mu Ssaza Mawogola. Ensonga zino ziri mu Kkooti enkulu e Masaka.
