Bya Boniface Kizza
Abaliko obulemu mukibuga Masaka bakubiriziddwa obutemotyamotya wabula basitukiremu ngeyatega ogwekyayi batandikewo bubbizinensi obutonotono naddala nga bakozesa ebintu ebibetolodde ngomu kukawefube wokwegya mubwavu nokutumbula embeera zabwe.
Bino bibadde mububaka bwamunnabyanfuna era omubalirizi webitabo James Kayingo Mpagi eranga yabadde omusomesa omukulu bwabadde asisinkanye abantu abaliko obulemu okubawa amagezi kubutya bwebayinza okutandikawo bubbizinensi obutonotono wamu namakubo agayingiza ensimbi naddala nga bakozesa ebyo ebibetolodde.
Omusomo guno gwategekeddwa ekitongole kyabantu abaliko obulemu nga era bawangaala nakawuka kamukenenya ki Masaka Association of Disabled Persons Living with Hiv and Aids (MADIPHA). Ono ayongeddeko ngabaliko obulemu bwebalina okwegyamu okwetya nokwesasira nga balina kimu kyakukola ebyo ebibatwala mu maso.

Ye akulira ekibiina ky’abakyala abaliko obulemu mu Masaka Muky. Ssennyonga Mary abasabye okukozesa obukugu bwebafunye ngabagunjawo amakubo agayingiza ensimbi bwebaba nga bakuva munvuba yobwavu. Nabawa n’amagezi agokuyambagana nobutesasira nga basaba emirimo mumakampuni agatali gamu.
Ye akikiridde ekitongole ki MADIPHA omwami Alex Muwonge asabye abaliko obulemu okwettanira enteekateeka zagavumenti zonna eziretebwa okumalawo obwavu omuli EMYOGA, PARISH DEVELOPMENT MODEL (PDM) nendala bwebaba nga bakubako newebatuuka.
