Bya Boniface Kizza
Abaliko obulemu mukibuga Masaka basabye akakiiko akavunanyizibwa kubyokulonda muggwanga aka Electrol Commission okwekennenya wamu nokukyusa amateeka agagobererwa mukulonda abakulembeze babaliko obulemu bagamba nti bannabwe bangi basosolebwa nebatwalibwa ngabatalina bulemu.
Bano okwogera bino basinzidde mu musomo ogutegekeddwa ebekitongole ki African Youth Development Link nga bali wamu ne Show Abilities Uganda bwebabadde bazze okufuna ebirowozo byabantu abaliko obulemu, nokumanya engeri jebayisibwamu wakati n’oluvannyuma lwokulonda.
Bano bongedde nebasaba akakiiko kebyokulonda okusawo emisomo egyenjawulo eri abakozi ba Electrol commission kungeri yokukwatamu abantu abaliko obulemu mukaseera k’okulonda, nga kwotadde nokulonda kwabaliko obulemu,q okuzaayo eri ebibiina byabaliko obulemu bebaba babivunanyizibwako.

Atwala ebyokulonda mukibuga Masaka Sam Agaba asinzidde wano nategeeza nga nabo bennyini bwebasanga obuzibu mukutegeka okulonda kwabantu bano nga nabamu kubbo bagyibwako eddembe lyabwe eryokulonda, wabula neyewera okutunulira ekintu kino enkaliriza.
Ayogedde kulwekitongole ki African Youth Development link Ivan Kibuuku agambye nti kawefube gwebalimu kwekusitula eddoboozi lyabaliko obulemu nabo basobole okuganyulwa nokwetaba obulungi mubyobukulembeze ewatali kunnyigirizibwa. Atubuulidde nti enteekateeka eno bakujitambuza eggwanga lyonna.