Bya Boniface Kizza
Abaliko obulemu okwetolola eggwanga basabiddwa okuba abasaale mukulwanirira eddembe ly’abwe nga kwotadde n’elyabalala bwebabanga bakutuuka kunkulakulana eyomuggundu.

Bino byogeddwa omulwanirizi w’eddembe kayinga era omusomesa nakinku Bernard Lukwago bwabadde asisinkanye abaliko obulemu mubbendobendo ly’e Masaka, mu musomo ogwategekeddwa ekitongole ki Masaka Association of Persons With Disabilities Living with HIV and AIDs (MADIPHA).
Omusomo guno nga gugendereddwamu okumanyisa n’okubangula abantu abaliko obulemu kubutya bwebayinza okulwanirira eddembe lyabwe n’okulikuuma awatali kulinnyigiriza ly’abalala.
Bernard Lukwago ategezezza ng’eddembe lyabaliko obulemu bwerizze lityobolwa nga n’abandi batuuka n’okubakolako ebikolobero omuli okubafunisa embuto agasajja kakaggwa ensonyi kyokka ababibakoze n’ebalekebwa nga bayinayina.
Ssentebe w’ekitongole ki MADIPHA agambye nti basanga okusomozebwa kwamanyi okumanyisa abantu bano kukulwanirira eddembe lyabwe olw’ensonga nti bangi mu maka gyebawangalira babasibira manju saako obutamanya obuli mu bantu bebawangaliramu.
Ssenkulu w’ekitongole kino Musisi Richard asabye gavumenti okukwasizaako abantu abaliko obulemu nga babaterawo obuwereza obusoboka naddala mubitongole bya gavumenti nga polisi kibasobozese nokufuna obwenkanya bwebazze nga balajanira.
Abamu kubaliko obulemu abetabye mu musomo guno bategezezza nga bwebazze balekebwa emabega mu pulogulamu za gavumenti ezisinga obungi nokusingira ddala ez’okwekulakulany, n’ebategeeza nga nabo bwebalina okuganyulwa obuterevu munteekateeka zonna.
