Bya Boniface Kizza
Abantu ba Kabaka mu ssaza Buddu n’okusingira ddala abo abennyigira munteekateeka y’emmwanyi terimba bogedde kunteekateeka eno gyebagambye nti ebasitudde mumbeera zaabwe n’okusingira naddala ez’okubagya mubwavu era n’ebasaba omutanda akirize ebe y’abuwaze kubuli muganda.

Bano nga bakulembeddwamu Paul Kato omutuuze kugombolola y’e Kalisizo mu disitulikiti y’e Kyotera bagamba nti entekateeka eno kasokedde etandika wano mu Buganda eyambye abantu bangi okubagya munvuba y’obwavu gyebali batubiddemu.
Bano bawabudde bannayuganda abatanaba kwettanira nteekateekeno okusitukiramu naddala bwebaba nga balina webagala okutuuka mubyenkulakulana.
Bano mungeri y’emu batubulidde okutya kwebalimu kubbeyi yemmwanyi gyebagambye nti esereba buli kadde nebasaba gavumenti eveeyo ngekiziimba tekinasamba ddagala erongoose akatale kemmwanyi bannayuganda basobole okuganyulwa mu manyi gabwe.
