Bya Boniface Kizza
Abalimi b’emmwanyi mu district y’e Lwengo bavuddeyo n’ebasaba Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okuvaayo okuwabula gavumenti y’awakati kundagaano z’ekimpatiira eziyingizibwa mukirime ky’emmwanyi z’ebagamba nti zig’endereddwamu kuttattana oba oli awo n’okusanyawo ekirime kino kyokka ng’abantu mu Buganda kwebabadde basibidde olukoba.

Omubaka buno babutisse amyuka omwami wa Kabaka nnamba ssatu Pokino Mwalimu Kato Abdullah bwabadde akyaddeko mukitundu kyabwe okulambula abantu ba Kabaka okusingira ddala abo abennyigidde mukulima emwanyi, bategezeezza ng’emmwanyi bwezze eyingirwamu bamafiya abagala okkozesa olukujjukujju ng’abayita mukusubula olwo omulimi afundikire nga talina kyafunamu.
Bano bongeddeko n’ebamulopera ebizibu by’ebayitamu ng’abalima ekirime kino omuli eddagala elifuyira obutaba lyamutindo, akawuka n’akasaanyi obumaze ennimiro zabwe nga kwotadde n’ebbeyi y’emmwanyi egenda esereba buli olukya.
Mwalimu Kato Abdullah mukwogerako nabo abagumizza n’abalagira obutaggwamu manyi n’okusigala nga balima emwanyi mubungi wamu n’okukuuma omutindo gwazo kuba akatale sikakuggwawo kati ngababikola babatiisabutiisa. Ayongeddeko nalabula gavumenti olwendagaano zezze ekola nabagwira ng’ezimu kuzzo zidibuuda nsimbi yamuwi wamusolo.
