Bya Elisa Nicholas Ssekitende
District Kathi wa Ssembabule Sheikh Abdallah Ssemakula, ayanjizza enteekateeka ez’okuzimba ekifo webanasomesa abaana Eddiini, e Kyabajanja mu Ggombolola y’e Lwebitakuli mu district eno ey’e Ssembabule.

Sheikh Ssemakula okuwa Obweyamo buno abadde agenze kwetaba ku Mukolo gwa SHUKUL, ogw’okwebaza Katonda olw’omuzikiti gw’ekyabajanja okuweza emyaka Etaano, nga guno gwatandika n’abantu Bana bokka, kyokka nga bakunnukkiriza mu 500.
Abazadde nno basinzidde eno nebamutegeeza nga abaana baabwe bwebatalina Ssomero lya Kumpi webasomera, era nga Tebafunanga Mukisa kuyigirizibwa bya Ddiini ya Busiraamu, kyavudde asalawo okukwaatagana nebanywanyi be okuva mu Ggwanga lya Turkey ne Buwarabu, abamusuubizza okutandika okukola ku nteekateeka ey’okubazimbira ekifo abaana mwebanasomera, ate n’okubawa Amazzi amayonjo ag’okukozesa.
Sheikh Musa Kasagga nga ye Imaam w’omuzikiti gw’e Kyabajanja, asanyukidde ekya Kaweefube w’okusomesa Abaana Eddiini nti kyakubayamba okubangula abaana bakule nga baamugaso baleme kufuuka bisassalala.