Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Mu Kiseera ng’abaddu ba Allah batambuza olunaku olw’ekumi n’olumu mu kisiibo kyaabwe eky’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan gwebalimu okutuukiriza empagi ey’okuna ey’obusiraamu, district Kathi wa Ssembabule Sheikh Abdallah Ssemakula akubirizza abantu nti wakati mukusiiba bateekeddwa okukuuma enkolagana ennungi wakati waabwe n’abantu abalala.

Sheikh Ssemakula agamba nti kino kimu kubyetaago bya Allah mu Kisiibo, ate nga kiyambako n’okukuuma emirembe mu nsi yaffe, era n’akalaatira n’ekyokuyamba n’abo abalina obwetaavu.
Ono era asinzidde musoma Dduwa mu Maka g’omugenzi Hajji Asuman Mukiibi eyakolerera ennyo okuzimba obusiraamu ku Kyalo Kawanga, e Mabindo mu district y’e Ssembabule, n’akubiriza abantu okulabiriranga bakadde baabwe, ate n’okusabiranga abo Katonda beyajjulula mu bulamu.