Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abasiraamu mu bitundu by’e Masaka basanyukidde ekya Court okuyisa ekiragiro ki Bakuntumye eri Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yewozeeko kuby’okutunda Ettaka ly’obusiraamu e Ssembabule.

Ssaabbiiti eno, Court Enkulu e Masaka yalagidde Mufti Mubajje nebanne Abalala balabikeko mu Maaso gaayo nga 24 Omwezi guno, babitebye olw’okumala gatunda eby’obugagga by’obusiraamu nga Tebagoberedde Mateeka.
Abamu kubasiraamu betwogeddeko nabo mu bitundu by’ebbendobbendo ly’e Masaka basanyukidde enteekateeka eno, era ng’abamu bagala alekulire, nti kubanga adibaze nnyo Obusiraamu.
Abasiraamu Bagamba nti Ettaka ly’e Ssembabule kimu Kuby’obugagga ebyabalekerwa Omugenzi Idi Amin Dada, era babadde balirinamu Essuubi Ddene nnyo okwekukulakulanya n’okutwala mu Maaso Obusiraamu, nga Bateekako Project ez’enjawulo. Bagamba Ekiseera kituuse Mubajje Alekulire, bafune omuntu Omulala anakuuma ebintu byaabwe n’okubagatta.