Bya Boniface Kizza Masaka
Abakulu bobusiramu okwetolola ebbendobendo ly’e Masaka mukaseera kano bali kubunkenke obutagambika olwokubuzibwawo kwabamu kubannabwe munno nga mwemuli nabakulembeze.

Ensonda ezitali zimu mukibuga Masaka zitutegezezza nga bwewaliwo abasiraamu basatu abakakwatibwa mussabiiti emu kuno nga kuliko ne seeka mulamba era nga bano bakwatibwa abantu abajjira mumotoka ezakazibwako zi Drone nga bali mungoye ezabulijjo.
Abamu betutegeddeko abakakwatibwa kuliko Hajji Hakim Katumba, Sheikh Abdul Rahid Ndugga nomulala atanamanyika mannya nga neyasembyeyo okukwatibwa yajjiddwa ku shell yamafuta gagagadde emannyiddwanga Buddu shell wano mukibuga Masaka.
Mukwogerako namyuka omubaka wa pulezidenti mukibuga Masaka Ahmmad Kateregga Musaazi akakasizza nga bwebali mubikwekweto bya Operation SHUJA nga emu kukawefube wokufunza abayekera ba ADF e Congo ngabamu kubbo badduseeyo nebettanira ebitundu bya Uganda ebitaki bimu. Era nalabula nabalala abakyekwese okugenda okweyanjula ku office za gavumenti ezimannyiddwa nga tebanakwatibwa.
Ono mungeri yemu ayongeddeko nga kino ekikolebwa bwekitali kyakuyigannya basiramu wabula okutebenkeza emirembe muggwanga, nawa namagezi abemulugunya bonna okutuusa okwemulugunya kwabwe eri omuddumizi wamagye e Kasijagirwa e Masaka.
