Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abakozi b’emirimu egyenjawulo mu kibuga Masaka omuli ab’amaduuka amanene, n’abasuubuzi abengeri endala mu kibuga Masaka, basuze mukubinuka mu Kivulu kyebaategese Okwekulisa Omuggalo.

Bano basuze basanyusibwa abayimbi ab’enjawulo okuli Lady Titie Ttendo Tabel, Vivian Ttendo, Betina Fasie, Muyunga Designer n’abalala Bangi, kwossa Endongo esindogoma eya ba DJ okuli Dannio owa Radio Buddu, MC Madimbuko neba Comedian aba Sakala Boys abakulirwa Mzeei Kamaadi ow’esswaga n’abalala, ng’ekivulu kiyindidde ku Solo Hytes hotel mu Kibuga Masaka.
Eno eby’okunywa n’okulya bibadde Ttommooni era nga Byakwejavaana, muky’eggulo kyebaayise DINNER y’abasubuzi mukwekulisa Omuggalo. Abantu abamaanyi boyinza okuyita ABABEDDE b’ekibuga Masaka tebalutumiddwa Mwana, nga muno mwemubadde n’amyuka RCC w’ekibuga Masaka Ahmed Kateregga Musaazi, CDO wa Masaka City Martin Kizza, Town Clerk wa Division ya Kimaanya Kabonera Mutebi Ibra N’abalala Bangi.
Kasumba Vicent nga ye President w’ekitongole ekitakabanira enkulakulana y’ekibuga Masaka ekya Masaka City Development Forum-CDF kw’akyiikirira abasuubuzi, akulembeddemu banne okuli Joakim amanyiddwa ennyo nga K2, Matovu Sulaiman amanyiddwa nga DJ Samulai abakulembeddemu Okutegeka, nebavumirira eky’emisolo eminene egyibabinikibwa n’okugerekerwa abantu nga tebasoose nakusomesebwa ku Nsasula n’engereka yaagyo ate nga batakabana okuzimba ekibuga ekikyali ekipya, wakati mu Mbeera enzibu nga baakava mu Muggalo ogwaaletebwa COVID 19.




