Bya Boniface Kizza
Entalo zebyettaka mu disitulikiti y’e Bukomansimbi buli olukya zeyongera okusimba enkandaggo oba kiyita okulanda ngamabeere gembwa. Kiteberezebwa ngamaka agasoba mu 400 nokusoba bebantu nga 800-1000 bebasuliridde okugobwa kuttaka nokufuuka emmombozze kukyalo kyabwe.

Abatuuze bano bawangalira kukyalo Budda mu muluka gwe kissojjo muggombolola ye Kibinge mu Bukomansimbi disitulikiti, bano nga waliwo omuggagga abeyimbyemu era ngamaliridde okubasengula kuttaka ono nga musawo weddagala lyekinnansi era ng’amannyiddwa nnyo mukuvumbula eddagala lya sukali ne kansa Dr.David Ssenfuka.
Mu mboozi eyakafubo gyetubaddemu nabatuuze nga bakulembeddwamu mukyala Hajji Edirisa Nnyanzi batubulidde ebbanga lyebamaze kuttaka lino nengeri gyebalifunamu nga nabamu kubbo tukizudde nga basikira ssikire.
Abamu nga n’amaziga gabayitamu batubulidde nga bwebalinako nebijja.Wabula abatuuze mukogerako nabo balumiriza abakulembeze bokukyalo okuli sentebe Kimera Ronald, difensi Jamilu ne Emmanuel kakwale owamawulire bonna nga bali kakiiko kokukyalo okubeera emabega womuggagga David Ssenfuuka.
Bano batutegezeeza nga bwebali mukutya olwabantu babwe bangi abazze babuzibwawo mungeri ettategerekeka. Wabula ngababdbuzaawo babategeezanga bwebavudde mu mu maka gapulezidenti e Ntebe.Abatuuze emirimu gyebasinga okkolerako kwekuli okulima emmwanyi, ebitooke, emisiri gyakalíttunsi nebirime ebirala kale nga bagamba nti kino ekyokubagoba ku ttaka kigenda kubafiiriza ensimbi nnyingi wamu nokubabuzako webabeera. Bano era balumiriza sentebe okusaawa emmere gamba ensuku nga kwottade nemisiri gyemwanyi yabwe n’okukozesa olukujjukujju ababbeko ettaka lyabwe.
Abatuuze bategeezezza nti kyandibadde kyamagezi Ssenfuuka naleeta abaamuguza wamu nempapula ezikakasa nga ono bweyagula ettaka lino.
Balaze okusoberwa olwensonga zino okuba nga zikyali mu kooti kyokka nokutuuka kati bakyafuna ebibaluwa ebibalagira okwamuka ettaka lino.
Bwetwogeddeko ne sentebe wekyalo Budda ayogerwako Kimera Ronald ategezezza nga bwatalina kyayogera kunsonga zino olwensonga nti ziri mu kooti.
Deo Bwanika nga ye sentebe wa LC II era avunanyizibwa ku nsonga zino agamba nti ebigenda mumaaso naye byamusobera dda olwabakulembeze banne abasokerwako omusuula nga ebbali mu buli nsonga egwawo nategeeza nga bwewalina okubaawo okwogerezeganya n’abatuuze b’okukitundu nga tewanabaawo kugobaganya muntu yenna kuttaka.
Fred Nnyenjje Kayiira nga ono yennyini ntebe wa disitulikiti ye Bukomansimbi agamba nti yaggula ettaka kyokka tebafunanga bukakafu nti alina ettaka lyeyagula era sibakukiriza muntu agenda kubba mu Bukomansi.
David Ssenfuuka ayogerwako tetusobodde kumufuna olwesimuze ezimannyiddwa ezomungalo obutakwatibwa
