Bya Boniface Kizza
Abatuuze okuva mu disitulikiti y’e Masaka bavuddeyo n’ebasimba nakakongo kuttaka eririna okuzimbibwako ekitebe kya disitulikiti.

Okusinziira ku byavudde mulukiiko lw’abakansala, basazeewo bagende n’ettaka erisangibwa kukyalo Kyambazi muggombolola y’e Kyanamukaaka nga lino ly’awebwayo eyali omubaka wa Bukoto era eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi.
Kinnajukirwa nti oluvannyuma lwa Masaka okufulibwa ekibuga, minisita w’agavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi yasaba abakulembeze ba Masaka okunoonya wa webayinza okussa ekitebe wabula nga kirina kuba wabweru wakibuga.
Peter Ssenkungu ng’ono y’akikirira abakozi kulukiiko lw’abakansala ategezezza ng’ekitebe bwekirina okuzimbibwa awantu awasobolwa okutukibwa buli muntu. Kuba kansala, 16 bawagidde ekyokuzimba ekitebe mu muluka gwe Nkuke muggombolola ye Buwunga.
Bino bijjidde mukaseera nga minisita wa gavumenti ezebitundu kyajje asindike ekibinja kyabakugu nga bakulembeddwamu mwami Swizin Mugyema okwekeneenya ekifo awagenda okuzimbibwa ekitebe kino oba olyawo nga kikwatagana n’omutindo.
Eng. Hon. Richard Ssebamala ayambalidde abo bonna abali emabega w’okulemesa eddoboozi ly’abangi nti bano bebatayagala nkulakulana kukitundu.Ono ayongeddeko nti abakulembeze abamu bagala ekitebe kizimbibwe e Nkuke ng’eno yewali famile ya Mr. George Mukasa nga naye yali awaddeyo ettaka kulwa disitulikiti ng’ekigendererwa kyabano kyakugula ttaka eririranyewo olwo bbo baddemu baliguze disitulikiti kubulindo bwensimbi.
Sentebe weggombolola ye Kyanamukaaka Cyrus Kalema ne kansala Antonio Muyunga, owe Kyesiiga bagamba nti abantu 16 tebasobola kusalirawo balala n’ebategeezanga Bukoto Central w’ebalina bulikimu ekyetagisaayo okuzimbibwa ekitebe.
Kizito Kawonawo nga yamyuka omuyambi w’eyali omubaka w’ekitundu kino Edward Kiwanuka Ssekandi yategezezza akakiiko nga nannyini ttaka bwali omwetegefu okwongera n’ekuttaka lino nga wakubawerako n’ekyapa.
Ssentebe wekyalo Kyambazi ewasubirwa okuzimbibwa ekitebe ategezeeza bwebatayinza kukiriza kufiirwa mukisa guno nategeezanga bwebamaze dda n’okkunga abatuuze okulaba nga basonda kubimu kubyetaago ebyetagisa okuzimba ekitebe.
Mukaseera kano wofisi za disitulikiti tezirina watuufu wezitudde wabula nga bagezaako kukozesa ebizimbe byamasomero, ebizimbe byeddwaliro bino byonna nga byabwakabaka bwa Buganda.
