Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssentebe wa Ggombolola y’e Kkingo Kibira Alosysious Muwonge, ayagala Eddwaaliro lyaabwe erya Kisansala Healthy Centre II, lisuumusibwe okutuuka ku mutendera gwa Healthy Centre ey’okusatu, abantu baabwe bafune obuweereza obwegasa.

Ono agamba nti abantu bangi abajja okufuna obujjanjabi ku Ddwaaliro lino okuva mu byaalo eby’enjawulo okwetoloola Ggombolola y’e Kkingo, nti kyokka obuweereza bw’alyo n’omutendera gweririko tegubakkirisiza kuwa bujjanjabi bwegasa, abantu nebasigala mukuluma obujiji n’okutindigga enggendo okunoonya webayinza okufuna obuyambi kuby’obujjanjabi.
Ono era ategeezezza nga bwebalina okusoomozebwa ku nzirukanya y’emirimu gya Ggombolola, okuva lwebajjibwako emiruka okuli Kiteredde ne Ssenya negyegatta ku Kibuga, ng’eno mwemwagendera n’ekitundu okuli ekitebe kya Ggombolola yaabwe kyebali bezimbira, nga kati bagala abatwala ekibuga Masaka babaliyirireyo ku Nsimbi, banoonye webanazimba ekitebe ekirala.
