Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omuwanika w’essaza lya Eklezia Katolika ery’e Masaka era nga y’atwala Olukiiko olukulira Abasomesa b’ebibiina bya CBS PEWOSA Rev.Fr.Edward Anselem Ssemwogerere, ayanjulidde bannabibiina ebiri wansi wa bbanka y’obwakabaka ey’abegassi BUDDU CBS PEWOSA SACCO enteekateeka enayamba abantu abatereka ensimbi zaabwe mukitavvu kino, okubeera n’obwesige era n’obukuumi obumala ku Nsimbi zaabwe.

Rev.Father Ssemwogerere asinzidde Kabira mu District y’e Kyotera mu Buddu, abatwala SACCO webasisinkanidde abantu okubategeeza kuby’enjawulo SACCO byetuseeko omwaka guno, ssaako ebyo byeteekateeka okukola era n’okufuna ebirowoozo byannabibiina wakati Mukweetegekera Olukiiko Ttabamiruka Olumalako omwaka, n’ategeeza nga bwebagala buli muntu okufuna Account eyiye mu SACCO, kibanguyize okugabanirako ensimbi zaabwe ng’ebibiina bimalako omwaka, okwewala okutambuliza ensimbi mu bisawo, oluusi n’abakulembeze okuzibulankanya nezitatuuka kubannyinizo.
Ono era Ategeezezza nga bwebagala okugenda mu Maaso n’okuteeteka abantu nga baabawa obuvujjirizi muby’ensimbi n’okubawa emisomo egy’enjawulo, okutuukiriza ekiruubirirwa ky’obwakabaka ekikulu okuwa abantu ba Beene obulamu obulungi.
Lydia Nakanjakko omu kubavunaanyizibwa kuby’ensimbi mu BUDDU CBS PEWOSA SACCO, ategeezezza nga bwebagala okukwasizaako bannabibiina n’ensimbi ezisoba mu Bukadde 10 mu Mwaka gw’ebyensimbi oguddako, okuyamba abantu okwongera okugaziya emirimu gyaabwe n’okutuukiriza ebiruubirirwa ebinene.
Gabriel Kibuule akulembeddemu abasomesa b’ebibiina abalala okubadde Prossy Nakaweesi nebanne, n’ategeeza nti Bakama baabwe okutuuka wansi kubantu Kyakwongera emirimu naddala nga baanukula ebibuuzo ebingi ba Mmemba byebaba nabyo, naddala kubuweereza obuva waggulu.
Abamu kubanna PEWOSA abeetabye munsisinkano n’abatwala SACCO basanyukidde eky’okubasisinkana, nebateegeza nti bongedde okubanguka ku ngeri y’okugenda mu Maaso.