Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abavubuka abaakava ku matendekero bayite ba “Fresh Graduates” basomeseddwa ku ngeri y’okutambuza obulamu, okunoonya okutandikawo n’engeri y’okweyisaamu ku mirimu ssaako enzirukanya yaagyo ssinga baba bagyifunye.

Aba Private Sector Foundation nga bali wamu ne Skills Governance Project nga bavujjirirwa European Union babadde Masaka gyebasisinkanidde abavubuka abaakava ku Matendekero okuli Kampala University, Muteesa 1 Royal University, Uganda Martyrs, Nkozi newalala, nebategeeza ng’abavubuka bangi mu Ggwanga bwebabonabona n’okunoonya emirimu ng’ebitongole ebikozesa ebisinga bisaba obumanyirivu oba Experience ey’ekiseera ekiwanvu ko, ate ng’abantu abaakamala okusoma baba tebalina bumanyirivu obwo, kyokka nga betaaga okukola.
Dr.Ruth Biyinzika Musoke nga ye Director wa Skills Governance Project-SG+ ategeezezza nga bwebakolagana n’ebitongole ebigaba emirimu okwetoloola eggwanga, okufunira abavubuka abo emirimu bbo babasasulireko ekitundu ku Misaala gyebateekwa okufuna, nga bwebabatendeka n’okufuna obumanyirivu abakozesa bwebetaaga kibayambe okutabuza obulamu, ng’obuvujjirizi buno babujja mukitongole ekigabirizi ky’obuyambi ekya European Union.
Biyinzika Musoke era abuuliridde abavubuka okumanya enneyisa esaanidde ku Mirimu gyebaba bafunye, n’abalabula nekubulimba abasinga bwebakozesa mukusaba emirimu, ekibalemesa okugyifuna.
Fredrick Nabbimba nga Asomesa kuby’okukyusa endowooza z’abantu naddala kubyemirimu n’enkulakulana okuva mu Private Sector Foundation, ategeezezza nga bwebagala okujjawo eky’endowooza egamba nti omuntu okufuna omulimu mubeeramu embeera eya “Ani Akumanyi” nga bagala okutuukirira ebitongole n’amakampuni agagaba emirimu mu Ggwanga okuwa omukisa abantu bonna naddala abaakava ku Matendekero omukisa okukola, nga basinziira ku Busobozi bwaabwe era nga baluubirira okufunira abavubuka abawerera ddala 1000 emirimu omwaka guno.
Nabbimba era akaalatidde abavubuka bulijjo okubeera abamalirivu kukyebaba basazeewo okukola, n’obutanyooma mirimu wadde emisaala egyibaweebwa, oluusi egyirabika ng’emitono.
Abamu ku Bavubuka abeetabye mu Musomo guno nga bakulembeddwamu omukulembeze w’abavubuka mu Division ya Kimaanya Kabonera mu Kibuga Masaka Fredrick Lutaaya, bagambye nti bafunye essuubi okubaako webatandikira kukutambuza obulamu, nga bayambibwako aba Private Sector n’amagezi agabaweereddwa.
