Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Olwaleero Uganda Yegasse ku Nsi Yonna Okukuza Olunaku Lw’okulwanirira entobazi, nga mu district y’e Masaka abalwanirizi b’obutonde bw’ensi wamu n’abatuuze, balumirizza ab’e Kitongole kya Uganda Forestry Authority, NEEMA n’ebirala ebivunaanyizibwa ku kukuuma n’okutaakiriza Obutonde omuli n’e Poliisi y’obutonde bwensi, obutakola Kimala okubutaasa.

Antonio Kalyango nga ye Ssenkulu w’ekitongole ky’obwannakyeewa ki Bio Diversity Conservation Foundation-BCF asinzidde Kyamuzinda-Malembo mu Ggombolola y’e Kyesiiga mukutongoza Kaweefube w’okutaasa ekibira kya MUJUZI FOREST RESERVE ekisinga obunene mu district y’e Masaka, nga kitudde ku Yiika ezisoba mu 15,000 kyokka nga mu Kiseera Kino Yiika Ezisoba mu 3000 zimaze okusaanyizibwawo abokya Amanda, abatema emiti gy’embaawo n’enku, n’alaga obwennyamivu olw’ebibamba ebingi ebizze bigwa ku bantu omuli Kibuyaga, Amataba n’ebirala, olw’okusaanyawo ebibira n’entobazi.
Kalyango ayambalidde abalina obuvunaanyizibwa okutaasa obutonde buno abekobaana n’abantu ababutyoboola n’awera nti nga bbo abeesowoddeyo okubutaasa bwebagenda okukola ekisoboka okulwanyisa abo abefunyiridde okubumalawo, n’asaba abagala okulima okusooka okukozesa ettaka eritaliiko Bibira na Ntobazi.

Akulira Ekitongole ky’obutonde bw’ensi ku District ey’e Masaka (Environment Officer) Rose Nakyejwe, alabudde abatuuze nti ssinga tebafaayo mukwenyigiramu Mukukuuma obutonde mu Bitundu byaabwe, bwebusaanawo bebajja okusinga okukosebwa, neyekokkola nnyo omuggalo ogwaaletebwa ekirwadde kya COVID 19 okuwa abalabe b’obutonde Omwagaanya okwegiriisa nga tewali abakuba ku Mukono, nga baasobola n’okufuna ebyapa ebibawa ekyaanya okukolera mu bibira n’entobazi nga n’ebisinga obungi ku bbyo ssi bituufu bigyingirire.
Nakyejwe era ategeezezza nga bwewaliwo okusoomozebwa okunene, nti kubanga abasinze okwenyigira mukusaanyawo obutonde ate bebanene bannantakwatwako!! Yye Ssentebe wa Ggombolola y’e Kyesiiga Gordon Mayanja, agamba nti Ggombolola eno yesinze okutemwamu ebibira nga ne Poloti zikyagenda mu Maaso n’okusalwamu abakakiiko k’ettaka akajjibwamu edda n’obwesige kyokka mbu nekalemera SITAMPU abampembe gyebakozesa okutunda ebibira n’entobazi e Kyesiiga, n’ayambalira Gavumenti okwesiba ku nnyanja yokka gyeyateeka abajaasi abataseguka, olwo ate ku Lukalu abasaanyawo ebibira nebasigala nga bayinayina!
Yye Ssentebe wa Kyannamukaaka Syrus Kalema, asabye Gavumenti ewe abavubuka abatalina Mirimu obusobozi bakolere emirimu egyitakosa butonde ku Lukalu, kiyambeko okutangira okwokya Amanda n’okulima mu Ntobazi. Ono era alabudde abantu baabulijjo nti bwebatavaayo kwerwanako, Gavumenti tegenda kubalabirira nga bafunye ebibamba nga Kibuyaga eyabagoya gyebuvuddeko.
Mukwewozaako, Bbaale Willy nga y’avunaanyizibwa kuby’ebibira e Masaka agamba nti Ekibira Mujuzi Kikulu nnyo mu district nti kubanga mwemuli n’ekiggwa ky’abeddira Omutima, wabula ng’ekyennaku kiri mukusaanawo ku Misinde egya yiriyiri!! Bbaale asabye abatuuze omusango obutaguteeka ku Bbo abakuuma ebibira nti wabula n’abantu bennyini beenenye kubanga bamanyi abasanyaawo ebibira bino naye baasalawo kufuuka kyesirikidde nebatabaloopa. Ono era aweze nti abali mukusaanyawo ebibira n’okwonoona obutonde obulala, baakukwaatibwa bavunaanibwe.
Ate Mu Kibuga Masaka, emikolo gy’okukuza olunaku lw’okulwanirira Entobazi mu nsi Yonna, gyikwaatiddwa mu kisaawe ky’e Gayaza mu Ggobolola ya Kimaanya Kabonera okumpi n’olutobazi lwa NABAJUZI, nga gyino gyikulembeddwaamu abalwanirizi b’obutonde n’abakulembeze ba Masaka City Okuli Mmeeya Florence Namayanja, omubaka w’ekitundu kino Dr.Abed Bwanika n’abalala, ng’omugenyi Omukulu abadde Minister w’amazzi n’obutonde Bw’ensi Sam Cheptoris akkaatirizza ekyabuli muntu okukwaatira awamu n’okulima buli omu olubimbi lwe, mukutaakiriza Entobazi, enkozesa ennungamu ey’amazzi n’obutonde bw’ensi obulala, olw’okubeerawo obulungi kwa Banna Uganda bonna.