Bya Boniface Kizza
Omwami wa Kabaka atwala Eggombolola Mutuba 12 Kkingo, mu Ssaza Buddu Omulangira Matia Mulondo, adduukiridde Amaka g’omwami Fred Bukenya eyasimattuka Abatemu mu Kiwenda ky’ebijambiya ebibadde by’egiriisa ennyo mu Bbendobendo ly’e Masaka Gyebuvuddeko.

Bukenya Yayokerwa Mu Nnyumba ng’alimu ne Mukyala we n’abaana Baabwe munaana e Nabyewanga mu Ggombolola Kkingo mu Lwengo, Kyokka nebasimatukka Okufa wadde nga Tebaasigaza Kantu wadde eky’okwambala.

Omulangira Mulondo nga y’atwala Ggombolola asinzidde mu Maka g’ono ng’aleese obumu ku Buyambi Omuli Engoye n’ebirala byajje mu Bantu ba Kabaka ab’ekisa, n’asaba Gavumenti eggule Amasinzizo abantu babalyoowe emyoyo kiyambeko okukendeeza Ebikolwa eby’ekko.
Ono era Annyonyodde ku Bintu ebireeteddwa mu Linnya ly’obuweereza bw’obwakabaka n’akinogaanya nga Beene ne Buganda yonna Bwenyolererwa wamu n’abantu bonna Abatuusibwako ettemu eribaddewo.