Bya Boniface Kizza
Abalimi b’emmwanyi okwetolola ebbendobendo ly’e Masaka n’okusingira ddala abo abawangalira mu district y’eBukomansimbi emitima basula gibewanise nga lumonde mu kikata olwakasanyi k’emmwanyi akagenda konoona emisiri gyabwe nga kalyako bikoola n’ekaletera n’emiti mingi obutaddamu kusaako mwanyi.

Bano nga bakulembeddwamu Godfrey Kikulwe sentebe wekyalo Kagongo A, mugombolola ye Kibinge mu Bukomansimbi bagamba nti bali mukutya olwakasanyi kano nga kasinga kulya mubudde bwakiro n’emubiseera byenkuba kyokka nga by’ebiseera byeri mukufuddemba.
Ono nga yegatiddwako abalimi b’omukitundu, bavuddeyo n’ebalajanira minisitule yebyobulimi wamu ne gavumenti okuvaayo okukalwanyisa kiyambe abalimi obutafirizibwa atenga n’abamu ensimbi z’ebakozesa bazewola mumabbanka.
Godfrey Kayemba Ssolo nga y’emubaka w’e Bukomansimbi awaliriziddwa okutukako muggombolola eno n’eyennyamira olwomuwendo gwebintu ogukalamuse ennyo kyoka ekirime kyabantu mwebagya ensimbi ate okulaba nga kisanaawo.
Omwami wa Kabaka mu Ssaza Buddu Pookino Jude Muleke asasidde banna Bukomansimbi wabula nabasaba okukozesa enkola ezisoboka ng’okufuyira wamu n’okolaganira awamu n’abalimisa b’okukitundu okulaba nga bamalawo embeereno eri mukukabya abalimi b’omukitundu akayiligombe.