Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkansala Akyiikirira Ggombolola y’e Kisekka ku District y’e Lwengo Jimmy Ssegujja, ategeezezza nga bw’agenda okwongera okuteeka Ssentebe wa district eno Ibrahim Kitatta ku Nninga okubaako ky’akola okugonjoola ebizibu ebiruma ekitundu ky’akiikirira.

Ono abadde ayogerako naffe n’ategeeza ng’ekitundu kya Ggombolola y’e eya Kisekka bwekirina ekizibu ky’amakubo amabi n’amazzi amakyafu era nga yabituusa dda mu Lukiiko lwa district kyokka tebinnakolwako.
Ono ayagala Ebimotoka bya District ebikola kukulima Amakubo bituukeko mu Kitundu kyaabwe, okukola ku Makubo amabi agasize, Amafunda ennyo nga gajjudde n’enfuufu. Ssegujja era ayagala ekitundu kye ekya Kisekka kifune nekumazzi Amayonjo ag’emidumu ne Nayikondo naddala ku Byalo okuli Busubi, Bunyere, Kirayanggoma, Ddongwa n’ebirala ebiri obubi ennyo.
