Abakyuse e Masaka Baweereddwa ensimbi okukola emirimu:
Bya Elisa Nicholas Ssekitende

Abavubuka abakyuse okwegatta ku Kibiina kya NRM mu bitundu bya District ey’e Masaka, baweereddwa ensimbi mbu okukola emirimu gy’okususuuta omukulembeze w’eggwanga, n’okumunoonyeza akalulu ka 2026 nga bayita ku mitimbagano.
Bwebabadde basisinkanye Minisita w’ebyokwerinda mu ggwanga Vicent Bamulangaki Ssempijja gyebuvuddeko, abavubuka abeegasse ku NRM mu bitundu by’e Kyesiiga mu Masaka nga bakulembeddwaamu Lubowa Richard ne banne abalala, baamumatizza nti guno mulembe gwa Mitimbagano era Kyasa ky’abavubuka, nga nabwekityo bateekeddwa okuvujjirirwa ensimbi, okuddukanya emirimu mu Kibiina, nga beeyambisa Tekinologiya aliko.
Mukwanukula bano, Minisita Ssempijja yabakwanze Kavu wa Nsimbi za Uganda emitwalo makumi abiri (200,000) okutandikirako. Bano bagamba nti mu bitundu by’ebyalo gyebali amayengo agatambuza Yintaneti ssimalungi ku masimu, nga nabwekityo baabadde betaaga okugula obuuma obutambuza amayengo bwebayita “WIFI” era nga ze Nsimbi ezabaweereddwa Ssempijja, bweyabasisinkanye emabegako.
Abavubuka era baanokoddeyo ezimu ku nsonga ezibaviirako okukyawa ekibiina ki NRM, nga mulimu eky’abantu abakulu okwekomya obuvunaanyizibwa bwonna mu biseera by’okunoonya akalulu n’okutuukirira omukulu, olwo bbo nebalekebwa ebbali mbu ng’abakulu balya!! “Bakitaffe Tubeebaza Mwakola omulimu, naye kati naffe guno mulembe gwaffe, olaba ne Ssaabasajja yagamba omulembe yagukwasa Bavubuka, mutuleke naffe tukulemberemu okuweereza Pulezidenti, n’okumonoonyeza akalulu akaddako, nga n’ensonga zaffe bwezikolwako kuba ffe tusinga okuzimanya” Abavubuka bwebategeeza Ssempijja n’ebikonge bya NRM mu Greater Masaka, bwebasisinkana e Kyesiiga Ssabbiiti bbiri eziyise.
