Bya Boniface Kizza
Sabaminisita wa Uganda Hon. Robinah Nabbanja Musafiiri akawagamudde bwategezezza ng’abantu bonna abesenja kuttaka lya gavumenti erya Sango-bay mu Kyotera bw’ebatagenda kufuna yadde omunwe gwennusu ngagamba nti bano ettaka balyesenjako mubumenyi bwamateeka.

Nabbanja okogera bino asinzidde Kyotera bwabadde alambula emirimo egyikolebwa mu district eno nga kuno kwekuli nettaka lino.
Ono ategezezza nti abantu bokka abagenda okuliyirirwa beebokka abajja ku ttaka lino nga semateeka wa Uganda owa 1995 tanakolebwa, wabula abo abazeeko oluvvannyuma lwa gavumenti okwogera nga bw’egenda okozesa ettaka lino nga bali mulukujjukujju lwakufuna nsimbi z’agavumenti abo tebagenda kuzirabako.
Ettaka lino libalirirwamu square miles 247 eranga limannyiddwa nga erya gavumenti.
Ono era asinzidde eno nalambula eddwaliro lya Kakuuto Health Centre 4 lyasanze mumbeera embi ng’ebitanda byonna by’amenyeka dda, amazzi ng’atekuli nga kwotadde n’abasawo okugya ensimbi kubalwadde n’addala abakyala abagenda okuzaala n’asaba byonna bikomezebwe.
Ono ayongedde n’ategeeza ng’oluguudo oluva e Masaka okudda e Mutukula bwerugenda okkolebwa wabula nga bakusooka kuziba biraka ebirulimu n’oluvvanyuma balyoke balukole.
Sentebe wa district y’e Kyotera Patrick Kintu Kisekulo annyonnyodde sabaminisita ebizibu district byeyitamu omuli ebbula ly’eddagala mu malwaliro, amasomero g’agavumenti okubeera mumbeera embi ekikonzibizza ebyenjigiriza saako nenguudo embi ezongedde okukonzibya enkulakulana y’omukitundu.
