Bya Boniface Kizza
Abakulembeze babaliko obulemu mu disitulikiti y’e Bukomansimbi bali mukutya olwomuwendo gwabakwatibwa akawuka kasirimu nga kw’otadde nakafuba gwebagamba nti gubasuseeko.

Bino babituseeko munsisinkano gyebabaddemu n’abakulembeze kumitendera egitali gimu nga batunulidde obulabe obuletebwa obulwadde bwakafuba (TB)
Mukyala Specioza Namyalo nga yakulira ekibiina kyabaliko obulemu mu disitulukiti eno ki Bukomansimbi Disabled Persons Living with HIV and AIDs (BUDIPHA) agamba nti ku bantu bebakatukako abatonotono mubbanga etono ennyo bakaweza omuwendo ogusoba mubantu 90 bano nga bawangala n’emukenenya gattako nobulwadde bwakafuba . Era ono anyonyodde nekubimu ebisinga okubasomooza naddala nga bagenze okufuna obujanjabi mumalwaliro.
Sentebe wa disitulikiti y’e Bukomansimbi Nnyenje Fred Kayiira agamba nti ekirwadde kya Covid 19 kyekiviriddeko akawuka kamukenenya okwongera okwegirisa olwokusulirira obujanjabi bwako nebadda mukulwanyisa covid 19 wabula nawa essuubi nti bagenda kwelwanako nga bwegwali. Ono ayongeddeko nga bwekigenda okufuuka eky’eteeka okuwa obujanjabi abaliko obulemu mukaseera kona webatukira awatali kubakandaliza.
Amyuka Pokino Mwalimu Kato Abdullah asinzidde wano nasaba gavumenti okwongera kubuwereeza eri abantu abaliko obulemu gamba nga amalwaliiro, amassomero n’ebirala so sikubalinda mubudde bwabululu bwokka.
Ssenkulu wekitongole ki BUDIPHA Musisi Richard asabye abaami ba Kabaka okubakwasizaako mukubunyisa obubaka obukwata kukawuka ka sirimu nakafuba kibayambeko okuzuula abo abakalina nokukalwanyisa.
Abamu kubaliko obulemu bategezeezza nti ebimu kubibasomooza ye entambula, ebbula lyeddagala nebirala.
