Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Munnamawulire Ssozi Ssekimpi Lwazi, era nga ye Pulezidenti w’ekibiina ekitaba Bannamawulire mu Bbendobendo ly’e Masaka ki South Buganda Journalists Association-SOBUJA, alangiridde nga bw’avudde ku mirimu gy’okukola amawulire ku Mpewo za Radio!!

Ssozi agamba nti ayagala kweemalira ku Mirimu gye egy’amasomero okuli erisangibwa e Kalisizo mu Kyotera, n’erye Mpugwe kulw’e Kampala. Ono era yeenyigira Butereevu mu Mirimu gy’okugula n’okutunda ettaka n’amayumba.
Ssozi Ssekimpi Lwazi yatandika okukola Amawulire mu Mwaka gwa 2008, ng’akoze ku Radio Nnyingi era mu bifo ebyamaanyi nga PROGRAMMES MANAGER, CHIEF EDITOR n’ebirala ku Radio nga Top, Masaka FM, n’endala, nga waasaliddewo okubivaamu nga muweereza ku Radio ya Kabaka CBS, gyakoledde emyaka 8.
Wabula waliwo obweeraliikirivu nti ssinga awummula nga bw’alangiridde, ajja kuba takyavunaanyizibwa ku biwandiiko bya SOBUJA n’ebintu ebirala nga Account, kyokka ng’abamu kubaagala okusigala nga batwala ekibiina kino mu Maaso babadde bezooba naye enfunda eziwera, abawe ebiwandiiko ebikwata ku Kibiina n’ebintu ebirala eby’enkizo, wabeewo okutegeka okulonda obukulembeze obupya.
Ekisanja kya Ssozi ng’omukulembeze w’abamawulire kyaggwaako mu 2018 okuva lweyalondebwa mu 2016, kyokka okuva olwo tewabangawo kulonda kulala era ng’abamu bagamba Entebe yagyiremeramu!!
