Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Wabaddewo akasattiro, akavuvungano n’okulwanagana mu kiro ekikesezza olwaleero, ku MariaFlo Hotel mu Kibuga Masaka abadigize ababadde bagenze okwesanyusaamu ku lunaku lw’abagalana okwekyanga olw’okulinda omuyimbi Pallaso nga talabika ku Siteegi.

Ekivulu kino Kibadde kimaze ebbanga nga Kirangibwa era ng’abayimbi ab’enjawulo okuli Sheebah Kalungi, Lady Titie n’abalala bangi abantu babadde babesunga kyokka nga mu Bonna omuyimbi wa MALAMU, MPA LOVE, OMUZIKI MPEKE n’obulala y’abadde omutwe omukulu.
Oluvannyuma lw’abayimbi abasinga obungi okumala okuyimba nga n’obudde buseebengerera eyo mu Ttumbi, abantu baatandise okubanja Pallaso n’ekyaddiridde kukasuka bucupa nakwasa butebe!!
Embeera yasajjuse Poliisi n’eyitibwa, amasasi mu Bbanga negakubibwa, abantu nebagyanukuza Amayinja okukakkana ng’endabirwamu za Mmotoka ya Poliisi bazaasizza nga wano ekivulu wekyakomye buli omu n’abuna emiwabo. Ayogerera poliisi mu bitundu bya Masaka Muhammed Nsubuga akakasizza okukwaatibwa kwa Bantu bataano olw’okukola Effujjo.
Oluvannyuma Pallaso yatuuse ku Ssaawa nga Munaana mu Ttumbi naye ng’ekivulu kyayiise Dda!! Wabula olwaalero tukitegeddeko nti Pallaso akkaanyizza n’omutegesi Ssali owa Ssali Events wamu n’abatwala MariaFlo, ekivulu okukiddamu ku Ssande ya Ssabbiiti eno, ng’abantu Basasulayo enkumi Nnya zokka.
Mukwetonda kwa Pallaso alabiddwaako ku Nguudo z’ekibuga Masaka, ng’ayera n’okulaga omutima ogumenyese.





