Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abatuuze ku Mwaalo gw’e Namirembe mu Ggombolola y’e Kyannamukaaka district y’e Masaka, basigadde bemagazza, olw’amataba agabalumbye negaleka nga bangi tebalina neweebegeka Luba.

Kino kiddiridde enkuba ebadde efudemba ennaku zino, ekireetedde ennyanja Nalubaale mu Bitundu by’e Namirembe eno okubooga. Amazzi ganjaalidde mu Mayumba g’abantu ku Lubalama lw’ennyanja eno, era agasinga obungi ennyanja negabutikira.
Abatuuze abasigadde nga tebalina Kantu olw’amayumba gaabwe okusaanawo n’ebintu byaabwe okwoononebwa enkuba n’amazzi g’ennyanja, bawanjagidde abakulu abakwaatibwako ensonga mu Gavumenti n’ebitongole ebigabirizi by’obuyambi, okubadduukirira.
Gavumenti ezze erabula abantu bulijjo okwewala okuzimba okumpi n’ennyanja n’okukolerawo emirimu egy’enjawulo egyikosa obutonde, nti kubanga kino kikosa obuteefu bw’ennyanja n’ebyennyanja ebiri munda mu Mazzi. Ennyanja eno Victoria ezze ebooga amataba negasaanyawo abantu mu bitundu by’emyalo egy’enjawulo okuli Lambu mu Ggombolola y’e Bukakata, Namirembe mu Kyannamukaaka azzeemu okubooga leero, e Kasensero mu Ggombolola y’e Kyebe mu Kyotera n’ewalala.
