Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Wabaddewo Okukubagana empawa, kw’ani omutuufu eyaweereddwa ekifo Ky’omubaka wa Gavumenti Atuula mu Kibuga Masaka, okudda mu bigere bya Robert Asiimwe abadde RCC.

Mu Lukalala olwaafulumiziddwa Offiisi ekola ku nsonga z’obwa Pulezidenti etwalibwa Minisita Milly Babalanda, Katende Ronald Yeyaweebwa ekifo ky’obwa RCC bw’ekibuga Masaka. Wabula omu ku banna Kibiina kya National Unity Platform, omu kubangi Abaayabulira DP okwesogga NUP Kasekende Ronald, Abadde atandise okujaganya n’abamwagaliza Ebirungi okumuyozayoza nga bagamba Omukulu yabadde ategeeza ye, nga waabaddewo ensobi mukifo ky’okuwandiika “KASEKENDE RONALD” nebawandiika “KATENDE RONALD”!!
Wabula Essanyu lya Kasekende libadde lya Kiyitamuluggya, Omu kubakulembeze ba NRM e Masaka Peter Ssenkungu, bw’akakasizza nti RCC omutuufu owa Masaka City ye KATENDE RONALD ng’ono Muvubuka abadde akola mu Offiisi ya Minisita Milly Babalanda e Kyambogo.
Kambugu Robert, ye Munna kibiina kya NUP Omulala eyaweereddwa obububaka bwa Pulezidenti, nga y’amyuka RDC wa Lwengo era nga Muvubuka Mbulakalevu. Abavubuka Abalala abaalowozeddwako ye Faizo Sseruwagi, abadde Omukulembeze w’abavubuka mu Kibuga Masaka nga kati ye Deputy RDC wa Kyotera District. Sseruwagi abadde Muzira wa NRM nnyo e Masaka, nga y’omu ku batono ababaddenga Beesimbawo ku Kkaadi ya NRM mu Masaka nebawangula. Mu Balala ye Sarah Kiyimba, naye Omukyala akyali Omuto eyaweereddwa obwa RDC bwa Rakai District okudda mu bigere bya Charles Mubiru abadde aweerezza emyaka emingi era ng’akaddiye.
