Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ba Ssentebe b’ebyalo mu district y’e Bukomansimbi, basabye abakulembeze ababatwala waggulu, okubayamba okutuusa emisomo egyikwata kubyamateeka wansi ku byaalo byaabwe, abantu basobole okugamanya, n’okumanya eddembe lyaabwe na ddi lwerityoboddwa n’okumanya wwa gyebasobola okuddukira okweekubira enduulu, n’emitendera gyebalina okugoberera.

Ba Ssentebe okusaba bino, basinzidde mu Musomo kuby’amateeka oguyindidde ku Kitebe kya Ggombolola y’e Kibinge mu Bukomansimbi, nga gwayitiddwa Ssentebe wa Ggombolola eno Deo Bwanika, nebagamba nti abantu baabwe bakaluubirizibwa nnyo okumanya enkwata y’emisango gyaabwe, nga tebamanyi nawakutandikira kufuna bwenkanya. Mu byalo era wasinga kwetobekayo emivuyo kuby’ettaka n’emigozobano gy’obsika, ng’ebiseera ebisinga abamanyi Oluzungu oba abagagga berimbika mukumanya amateeka nebavunvubika abantu.
Ssentebe Bwanika asinzidde wano n’asuubiza okunoonya engeri yonna esoboka n’okwetayirira bannamateeka n’abakulembeze abamusingako, enkola ey’okusomesa abantu kuby’amateeka ebunyisibwe mu kitundu kya Ggombolola ye, okuli emiruka n’ebyalo.
Omulamuzi w’eddaala erisooka mu Kkooti ya Bukomansimbi etuula e Butenga Aisha Nattembo, asinzidde mukusomesa Abantu n’abakalaatira bulijjo okumanya Eddembe Ssemateeka lyabawa, n’okulikozesa obulungi obutanyigiriza balala. Omulamuzi Aisha agambye, abantu balina eddembe okuwozesebwa mu Lulimi lwebategeera, n’okuweebwa ensala mu buwandiike kiwe omwaganya abatamatidde nsala eba eweereddwa okujulira.
Ono era ajjukizza abantu nga bwebalina eddembe okufuna abataputa, ssinga olulimi oluba lukozesebwa mu Kkooti nemukitundu mwebali Tebalutegeere. “Bwebaba Bakozesa Luganda oba Luzungu nga Ggwe tolutegeera, bagambe nti nze ebyo ssibitegeera munfunire amanyi olutooro” Omulamuzi Nattembo bw’ategeezezza abatuuze. Abatuuze era balabuddwa nekukuwola ensimbi z’embaata, nti tezikkirizibwa mu Mateeka.
