Bya Boniface Kizza
Poliice mukibuga masaka ekutte abantu 2 bagiyambeko mu kunonyereza kweliko okuzuula omukuumi wesundiro ly’amafuta eyakubye amasasi omu kubakozi mukiro ekyakeseza olunaku lweggulo n’amutta ye nakuliita ne ssente.

Ayatiddwa ye Eria Paul Kakooza ngayabadde mukozi ku ssundiro ly’amafuta erya Bamu era nga munne eyabadde alina okumukuuma ate yamwefulidde namukuba amasasi agamutiddewo nadduka wabula yo emmundu nagirekawo.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Jeremiah Musiitwa bagamba nti omukuumi ono abadde yakaleetebwa ku sundiro lino kyokka nebavumirira kino ekyakoleddwa.
Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka Muhammad Nsubuga agamba nti waliwo abantu babiri abakwatiddwa okuli maneja ne supervisor Andrew Turyamureeba bayambeko okunoonyereza ekyavuddeko ettemu lino.
Ono agamba nti mukaseera kano bali kumuyiggo gwa Ambrose Tumusiime ono nga yabadde omukuumi mu kitongole kya Tiger Security Company agambibwa okutta omukozi kyokka nga nensimbi zeyatutte tezinamanyika muwendo.
