Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssaabasumba eyawummula Rev. Fr.Augustine Kasujja, y’akulembeddemu okutongoza Kaweefube ow’okugaba Omusaayi mu Ssaza Mawogola n’akkaatiriza obukulu obw’okukuuma Obulamu nga buli omu yenyigiramu Butereevu.

Enteekateeka y’okugaba Omusaayi mu Ssaza lino yakukulungula ennaku Ttaano olwo ebunyisibwe ne Mu Masaza ga Buganda amalala gonna e 18, ng’ewomeddwaamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation nga Bakolaganira wamu ne Uganda Blood Transfusion Services, mukaweefube Obwakabaka gwebuliko okumalawo ebbula ly’omusaayi mu Ggwanga Uganda.
Omwami wa Kabaka atwala Mawogola Muteesa Muhammed Sserwadda, akubirizza Abantu ba Kabaka bonna Mu Ssaza lino okuggwaayo beyiwe mu bifo ebitereeedwaawo okugaba Omusaayi wonna Okwetoloola Amagombolola 6 agakola essaza lino, enteekateeka y’omulundi guno ekomekkerezebwe nga Mawogola y’eridde mu balala Akendo. Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Eddy Kaggwa Ndagala, akkaatirizza nti okuwaayo Omusaayi kikakata Ku bulk Omu, kubanga tewali Kkolero lyagwo, sso nga bangi abagwetaaga okutaasa obulamu, omuli Abazaala, Abalina Ebirwadde ebikambwe Ssaako Abagudde Ku Bubenje.


