Bya Boniface Kizza
Bakansala mu lukiiko olukulembera disitulikiti y’e Kyotera bavudde mu mbeera n’ebayiwa olukiiko lwabwe olubadde luyitidwa okwanjibwamu embalirira ya disitulikiti eno ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Mu lukiiko olutudde Ku kitebe kya disitulikiti e kasaali nga lukubirizibwa sipiika Francis Xavier Lubinga bakansala nga bakulembeddwamu owa kasaali Town council Dorothy Balojja becwacwanye n’ebafuluma mu lukiiko luno era sipiika n’awalirizibwa okulugalawo olw’omuwendo gwa bakansala ogulambikiddwa obutawera.
Bakansala bagamba nti ekyokuyiwa olukiiko luno baalabye nga y’engeri yokka w’ebasobola okutuusa obubaka bwabwe eri ssentebe awamu n’akulira abakozi mu disituliki eno Ku nsonga y’okujja ssentebe wa kakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti nga bwe bateesa nga kyoka ensonga eno ekyalemedde mu diiro.
Ndawula Kamulali ssentebe wa kakiiko ka bakansala akalondola ennyingiza ne nsasanya ya ssente z’omuwi womusolo agamba nti gyebuvuddeko olukiiko lwa bakansala lwasalawo okuteeka kkomekome ku kisanja kya ba memba ba kakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti eno kyoka ye ssentebe waako n’asalawo ave mu wofiisi olwemivuyo egyetobese mu kugaba emirimu mu disitulikiti eno.
Ono ayongerako nti basalawo batyo kuba nekaliisoliso bweyali asazewo ng’ayita mu baluwa gyeyawandikira abakulembeze ba disitulikiti eno kyoka nga okuva lw’eyawandiikibwa Teri kyali kikoleddwa.
Kyoka ekyabakansala okuyiwa olukiiko tekyasanyudde bakansala abamu nga bagamba nti kibadde tekyetagisa.
Antonio Kalyango owa Lwankoni yategezeza nti wadde ensonga yakakiiko nkulu nnyo naye ate tesanye kukosa buwereza bwa gavumenti eri abalonzi ekiyinza okuva mu butayisa mbalirira.
Ayongerako nti babadde bayina ebbanga ddene okukwasa abagaanye okutekesa mu nkola ekiragiro kya kaliisoliso kuba n’ebbanga eryabaweebwa libadde terinagwaayo.
Agnes Namusiitwa amyuka ssentebe era avunanyizibwa ku byensimbi Ku disitulikiti eno anenyeza bakansala okusosowaza ebigendererwa byabwe nga abantu okusinga ebyabantu ababalonda awamu n’okutobeka ebyobufuzi mu buli nsonga kuba banyonnyolwa bulungi emitendera egigobererwa okujja omukozi wa gavumenti mu w’ofiisi nga bwegyetaaga obudde n’okugumikiriza.
