Bya Boniface Kizza
Ba Kansala ku disitulikiti e Masaka basembye ekirowoozo kyokutunda ebimu ku byobugagga bya disitulikiti eno ebisangibwa mu kibuga Masaka, basobole okufuna ssente ezizimbira abakozi baabwe wofiisi mu kifo ekyasalwawo okuzimbwako ekitebe kya disitulikiti eno oluvanyuma lwokusalwaako ekibuga.

Okusalawo bwebati basinzidde mu lukiiko olwatudde ku Masaka Rehabilitation center nga lukubirizibwa sipiika Francis Kimuli oluvanyuma lwa alipoota eyasomeddwa ssentebe wakakiiko ke byensimbi nga eraga eddubi lye byensimbi disitulikiti eno mwetubidde.
Bakansala bano bagamba nti ate oluvanyuma lwa disitulikiti eno okusalwako ebitundu bye kibuga nebifulwa city amakubo mweyali ejja ssente gaakendera nga emirimu mingi mu kiseera kino gizingamye nolwekyo nga kiba kyamagezi okutunda ebimu ku byobugagga bya disitulikiti emirimu gitambule.
Ebimu ku byobugagga ebyogerwako mu embeera eno mwemuli ebidduka ebyakaddiwa, emiti disitulikiti eno gyeyasimba nekigendererwa ekyokugifunamu ensimbi , ettaka lyayo eriri mu kibuga n’ebirala nga kisubirwa nti singa biba bitundiddwa ssente ezinavaamu zakubayambako okugulira ne bitongole ebimu entambula kuba tebirina.
Peter Ssenkungu yategezeza nti ensimbi gavumenti ya wakati zewa disitulikiti eno ntono ddala nga ate namakubo mweyali ejja ssente gakendeera nga singa baba tebayina kyanjawulo kyebakoze omutindo gw’obuwereza mu disitulikiti eno bwakukenderera ddala.
Francis kimuli sipiika wa disitulikiti agamba nti mukiseera kino, nga abakozi ba gavumenti bakolera mu wofiisi eziri mu kibuga emirimu gizingamye nga n’obworumu bawa alipoota mu lukiiko lwa disitulikiti nga basinzira ku ebyo byebasiiba balaba mu kibuga ate nga byawukanira ddala nebyo ebiri mu kyali.
“Twetaaga okutunda ebimu ku byobugagga ebyo kuba disitulikiti yabigula nekigendererwa ekyokufuna mu ssente mu kiseera ekyobwetavu mu maaso , Kati obwetavu webuli kuba tetulina kitebe” Kimuli bwe yanyonyodde.
Wabula Nathan Lujjumwa akulira abakozi ba gavumenti mu disintegration eno yategezeza nti mu kiseera kino bakyetaaga okufuna obuwabuzi okuva mu minisitule ya gavumenti ze bitundu ku bwananyini bwebyobugagga buno naye nabasubiza nti singa kino kinagwa amateeka gakugobererwa ebintu buno bitundwe.
