Bya Boniface Kizza
Abakulembeze, abatuuze wamu ne Voice of Kigangazzi fans club babukerezezza nkokola okuyonja akabuga k’e Kigangazi olwobukyafu obubadde bufumbekedde mukifo kino nga balumiriza abakulembeze ba town concil okubasulirira ekintu ekibadde kitandise okubaletera endwadde eziva kubukyafu.

Mubifo ebimu byebakozeeko bulungi bwansi kuliko eddwaliro lya Kigangazzi health centre II, ebifo ebisinzibwamu nga mwotwalidde n’omuzikiti kko nekkomera lya Bukomansimbi Central police station.
Abetabye mukkola bulungi bwansi bategezeezza nti ensonga kwebasinzidde okuyonja kwekuddukirira omulanga gwa Ssabasajja Kabaka wa Buganda ogwokulwanyisa enddwadde eziva kubuligo ng’abayita mukukola bulungi bwansi.
Meeya we Kigangazzi Ssalongo Kawuma Yasin asiimye ekikoleddwa n’agamba nti ekitundu kyonna ekirimu abantu abalina omwoyo gwabulungi bwansi kyanguyirwa okutuuka kunkulakulana ey’omuggundu.
Wabula ono ayongedde n’ategeeza ng’ebbula ly’ensimbi ly’ebalimu bwelitabasobozesa kuyimbagatanya byonna nasaba bannakigangazzi okusigala nga bakozesa enkole eyabulungi bwansi bakuume ekitundu kyabwe nga kiyonjo.
Ye Ssenkulu wa Voice of Kigangazi fans club Salongo Badru Bawanga agambye bakugenda maaso n’okukubiriza abantu b’omuteregga okw’etaba mubulungi bwansi nga kwotadde nenkola ez’okwekulakulanya n’addala nga babayigiriza okutereka akatono kebaba bafunye.
Oluvvannyuma wabaddewo omupiira muzza ganda wakati wa Voice of kigangazzi fans club naba Boda Boda b’omukitundu era gy’ebigweredde nga kigangazzi ekubye 3:2.