Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Nabuli Kati abakulu abatwala ekibuga Masaka wamu n’abebyenjigiriza, bakyalemereddwa okumalawo abaana naddala abali mu myaka egyisoma ku nguudo kwebakolera emirimu egy’enjawulo omuli okutunda Mask n’ebyokulya ebirala naddala ebirime omuli Kasooli, Amayuuni, Ennyaanya obutungulu n’ebirala.

Gyebuvuddeko abavunaanyizibwa ku Nsonga z’abaana mu Kibuga Masaka, nga bakolaganira n’abatwala eby’enjigiriza baawa ekiragiro ekigaana abaana bonna abali wansi w’emyaka 18, obutaddamu kutembeeya byamaguzi mu Kitundu Kino.
Mukiwandiiko ekyafulumizibwa obukulembeze bw’ekibuga Masaka okuyita mu Office y’abaana n’amaka, abaana bangi abalabwako nga batambuza ebintu eby’enjawulo okwetoolola enguudo n’ebizimbe mu Masaka okuviira ddala kumakya okutuuka ekiro, nga kino bagala kikome mbagirawo.
Atwala ebyenjigiriza mu Masaka City Steven Kakeeto, agamba nti abaana bamaala emyaka ebiri nga tebasoma era nga beenyigira mu mirimu egy’enjawulo, nga Kati kyekiseera Badde kumasomero basome, mukifo ky’okuleereetera mu Kibuga nga Batembeeya ebintu, wabula nabuli kati bangi bakyaliko
