Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Waliwo Okusoomozebwa okw’amaanyi ku Luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara, olw’ebimotoka ebisimbibwa ku Mmabbali g’e Kkubo mu Towncouncil ey’e Kinoni mu district ey’e Lwengo, ekireetawo obunkenke n’akatyabaga akayinza okuvaako obubenje.

Mmotoka nnaddala ezigudde ku bubenje mu bitundu bino ebya Lwengo, ziteekebwa ku Mmabbali g’oluguudo Mwasanjala luno olugenda e Mbarara nga zonna zirujjuddeko kumpi kuziba Kkubo lyonna, kyokka ng’ebidduka ebya buli kika omuli nebi Tuleera ebitambuza ebyamaguzi kwossa zi Bbaasi wano wano weziyitira wakati mukulwana okuyita awasimbiddwa Mmotoka ezafa edda!!
Twogeddeko ne Mmeeya wa Town Council ey’e Kinoni Kizito Mbaaga Kibuuka, n’atutegeeza ng’ensonga eno bwebabobbya omutwe era nga baagyogerako dda nemu lukiiko kyokka Poliisi y’e Kinoni nebategeeza nga bwebatalina Kifo webasobola kukuumira Mmotoka zigudde ku Bubenje, nti kubanga n’ekifo webali bapangisa bupangisa.
Ono era Awanjagidde abakulu abatwala Poliisi mu Ggwanga, bayambeko okukulakulanya ekifo Omuzirakisa weyagabira poliisi y’ekinoni, efune aw’okuddukanyiza emirimo n’okutereka ebimotoka ebifu,nti kubanga biteeka obulamu bw’abatuuze mu Katyabaga, era nga bisiikiriza n’emirimu gy’abantu abamu nebalemwa okukola.
Aduumira Poliisi y’ebidduka mu Bbendobendo ly’e Masaka ASP Godfery Mwesigwa, ategeezezza nti Ensonga eno bagyimanyi, abantu bangi baagyemulugunyako dda, era Bakola ekisoboka okugyigonjoola.
